MENGO: Obwakabaka bwa Buganda Bwanjudde Enteekateeka Ey’okujaguza Amazaalibwa Ga Kabaka Ag’emyaka 68.
Mu lukungaana lwa Bannamawulire olutudde enkya ya leero (ku lwokubiri nga 11 April 2023) ku Bulange, Katikkiro wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga agambye nti enteekateeka zirimu omukolo ogw’okujaguza awamu n’emisinde.

“Omukolo ogw’okujaguza amazaalibwa gwa Lwakuna nga 13 April, 2023, mu Lubiri, nga gujja kubaako abantu 200 bokka, abaayitiddwa. Omukolo gutegekeddwa ku mulwamwa ogw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Kabaka, nga Ssaabalabirizi w’aba Seveniside, yajja okukulemberamu okusaba. Era gujja kuba mumpi ddala.” Katikkiro bwagambye
Omukolo gwakutandika ssaawa mukaaga era gwakuwerezebwa butereevu ku BBS Terefayina ey’obwa Kabaka bwa Buganda.

Emisinde, gya ku Ssande eno nga 16 April, 2023, mu Lubiri, e Mengo, nga Kabaka yasiimye okusimbula abaddusi abasuubirwa okuba emitwalo kkumi, nga giddukibwa ku mulwamwa gwa byabulamu. Omulamwa gw’okulwanyisa mukenenya gukyatwalibwa mu maaso, ng’abaami be basaale, okutaasa omwana owoobuwala.
Enteekateeka ziwagiddwa Airtel; CBS FM; BBS Terefayina; DFCU Bank; Vision Group; Amazzi ga Nivana, n’abalala.
centralupdates31@gmail.com